Amawulire

Omubiri gw’omugenzi Oulanyah gugenda kutwalibwa mu palamenti

Omubiri gw’omugenzi Oulanyah gugenda kutwalibwa mu palamenti

Ivan Ssenabulya

April 5th, 2022

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Omubiri gwomugenzi Jacob Oulanyah, abadde sipiika eye 11 olwaleero gugenda kutwalibwa mu palamenti okukungubaga nokusiima erimu amakula gyakoledde egwanga lino.

Oulanyah, Mukama yamujulula nga 20 March mu Seattle munda mu gwanga lya America gyeyali atwaliddwa okujanajabibwa.

Omulambo gwe gwakomezebwawo mu gwanga ku lunnaku Lwokutaano wiiki ewedde.

Kati olwaleero gugenda kujibwa mu maka g’e Muyenga gyegubadde okuva ku lunnaku lwa Sunday, gyegwatwalibwa okuva mu maka ga kampuni ya A-Plus bagwolekeze palamenti.

Okusinziira ku minisita wamaulire Dr Chris Baryomunsi, wategekeddwawo olutuula olwenjawulo ababaka okumusiima nokumukubako eriiso evvanyuma.

Ababaka bagenda kwambala bowtie ngakabonero akokumujjukira, kubanga yebadde enyambala ye.

Ebirala, ababaka okuva mubitundu byegwanga ebyenjawulo batgese okuyimba nokutendereza era mungeri y’okumukungubagira.

Omubiri gwa Oulanyah, olunnaku lwenkya gwakujibwa ku palamenti okugutwala e Kololo mu kusaba kwe gwanga, okujja okukulemberwamu Ssabalabirizi wekanisa Uganda Dr Kazimba Mugalu.

Mungeri yeemu gavumenti efulumizza ssente, akawumbi 1 n’obukadde 200 kulwembalirira y’okuziika abadde sipiika wa palamenti Jacob Oulanyah.

Kino kikakasiddwa akulira ebyamawulire ku palamenti Chris Obore, ngagambye nti ssente zabawerddwa nga palamenti okuva mu minisitule yebyensimbi.

Olukiiko olwa waggulu olwa Parliamentary Commission, agambye nti bagenda kukwatagana nolukiiko lwegwanga olutegeka okuziika okukola emirimu gyonna gyetagisa.

Ate’byokwerinda binywezeddwa, wakati mu ntekateeka zonna ezakoleddwa gavumenti okukungubagira omugenzi Jacob Oulanyah.

Kino kikakasiddwa omwogezi wa poliisi Fred Enanga ngagambye nti ngabakuuma ddembe bali bulindaala.