Amawulire
Oulanyah agenda kuzikibwa olwaleero
Bya Ritah Kemigisa
Abadde sipiika wa palamenti Jacob Oulanyah agenda kugalamizibwa mu nnyumba ye, eyoluberera olunnaku lwaleero ku kyalo Ajuri mu gombolola ye Lalogi mu disitulikiti ye Omoro.
Oulanyah, Mukama yamujulula okuva mu bulamu bwensi nga 20 March, nga yafiira mu gwanga lya America, gyeyali atwaliddwa okujanjabibwa.
Alipoota yabasawo, eyasomedwa eri egwanga yalaze nti omugenzi abadde alwanagana nekirwadde kya kokolo, atenga nebitundu bye ebyomubiri ebyenjawulo byafuna obuvune.
Omulambo gwe, gwakomezebwawo mu gwanga ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde.
Ebimu ku bikoleddwa mu kuziika kwa gavumenti okutongole, omulambo gwatwalibwa mu palamenti ku Lwokubiri, ku Lwokusattu wabaddewo okusaba kwegwanga okutongole, oluvanyuma negutwalibwa ku butaka mu disitulikiti ye Omoro.
Olunnaku lweggulo wabaddewo olutuula lwa kanso olwawamu, nga lwetabiddwamu ba kansala nabakulembeze bazi disitulikiti okuva mu Acholi, Lango ne West Nile, era baliko ebiteeso byebayisizza eri gavumenti okusobol okukuuma emrimu omugenzi gyakoze nokujitwala mu maaso.
Gavumenti yasinzidde mu tteeka erya Parliamentary Pensions Act, nerangirira olwaleero nti lwakuwummula, egwanga okusobola okukungubaga nokuziika.
Okusinziira ku banaffe aba Daily Monitor, famile y’omugenzi Oulanyah nabakulu bebika bakanyizza nti bamuziike okulinaana amalaalo ga nnyina era awazikibwa mukyala we, eyasooka.
Ssanduuko egenda kutekebwako bendera yegwanga, era wagenda kuberawo okukuba emizinga gyemmundu 17.
Ate Ssabalamuzi wegwanga, Omulamuzi Alfonso Owiny Dollo asomozza abantu mu mambuka gegwanga okusigala obumu, bwebolesezza mu kufa kwa Jacob Oulanyah.
Owiny Dollo bino yabyogeredde mu lutuula lwa kanso olwenjawulo, olwetabiddwamu abakulembeze okuva mu Greater North olwatuziddwa okukungubaga n’okusiima omugenzi.
Ba kansala 300 okuva mu disitulikiti z’Acholi, West Nile ne Lango bbetabye mu lutuula luno.
Agambye nti bwenadda mu njawukana, bolekedde okumala mu ddungu emyaka 40 nga betoloola, ngabaana ba Ireal nga tebagenda mu maaso.
Asabye abakulembeze mu kitundu kino, okutulanga awamu okugonjoola obutakanya bwabwe, mu kifo ky’okuddukiranga mu maka gobwa pulezidenti ku buli kimu.
Mungeri yeemu, Ssabawandiisi wekibiina kya NRM Richard Todwong agamba nti okufa kwa Jacob Oulanyah, kkonde lyamaanyi eryabakubiddwa ngamambuka gegwanga negwanga awamu.
Agambye nti okumusiima kinabeera kikulu nnyo, okunyweza ebyo byakoze era noulaba nti igenda mu maaso.