Amawulire
Abavuganya betegekedde okulonda kw’Omoro
Bya Prosy Kisakye ne Benjamin Jumbe
Abamu kub’oludda oluvuganya gavumenti bagamba nti betegese, okwetaba butereevu mu kuvuganya ku kifo kyomubaka we Omoro mu palamenti, mu kulonda okwokudibwamu okugenda okuberawo.
Akakiiko kebyokulonda kalangiridde nti okulonda kujja kuberawo nga 26 May 2022 ngentekateeka zaatandise, ezokujuza ekifo ekyo.
Ekifo kino kyasigadde nga kikalu oluvanyumalwokufa kwomubaka, Jacob Oulanyah, abadde sipiika wa palamenti eyomulundi ogwe 11.
Okusinziira ku ntekateeka eyafulumiziddwa akakiiko kebyokulonda, okusunsula abanavuganya kujja kuberawo nga 12 nenkeeera waalwo nga 13 May, mu kisenge ekitesezebwamu, ku disitulikiti ye Omoro.
Kampeyini, oba okukuyega abalonzi kujja kuberawo okuva nga 16 kuggalwewo nga 24 May 2022.
Kati akulira ebyokulonda munda mu kibiina kya FDC, Toterebuka Bamwenda agambye nti ngekibiina batandise okwetegeka.
Mungeri yeemu, n’omwogezi wekibiina kya DP Okoler Opio, agambye nti batandise okwetegeka, nokuzuula abanayinza okuvuganya ku kaada yekibiina.
Ate akakiiko kebyokulonda kasabye abantu babulijjo era abalonzi, mu disitulikiti ye Omoro okweyambisa ennaku enkulu eza Paasika, okukebera amannya gaabwe mu nkalala zabalonzi.
Akakiiko kebyokulonda kataddewo ennaku, okuva nga 14 okutukira ddala nga 19 April 2022, okukebera enkalala zabalonzi, mu kwetegekera okulonda okwokujuza kifokyomubaka we Omoro, okugendaokuberawo omwezi ogujja.
Omwogezi wakakiiko kebyokulonda Paul Bukenya agambye nti entekateeka yokukebera enkalala zabalonzi ejja kugenda mu maaso okuyita nemu nnaku za Paasika.
Olunnaku lweggulo, akakiiko kaatuzizza ensisinkano nabakwatibwako ensonga, mu kitundu kye Omoro.