Amawulire
Palamenti asabye poliisi ne Minisita Katumba banonyereze ku bubenje bwókunguudo
BYA BENJAMIN JUMBE NE JULIET NALWOOGA,
Amyuka sipiika wa palamenti Thomas Tayebwa, asabye poliisi ne minisita owe byentambula Gen Katumba Wamala, okunonyereza ku bubenje obweyongera mu ggwanga.
Kino kidiridde akabenje dekabusa akagudewo enkya ya leero, baasi ya kampuni ya Link buses bwegudde abantu abasoba mu 20 ne babulira obulamu bwensi eno.
Tayebwa bino abyogeredde mu lutuula lwa leero.
Ye omubaka wa Bukooli Central, Solomon Silwany asabye minisitule eye byentambula okutekesa munkola obuuma obufuga sipidi mu motoka zonna ezolukale.
Alabudde nti okujjako nga kino kikolebwa abantu bangi bakusigala nga bafa mu ngeri eno.
ate Poliisi evudeyo nemenya agamaanya gaabo abafiridde mu kabenje akagudewo enkya ya leero ku luguudo oluva e Mabale-Tirinyi.
Faridah Nampiima, omwogezi wa poliisi ye bidduka, ategezeza nti abagenzi kuliko David Mulabi, Fatima Namarome, kurusum, Kafero ne Isaka.
Akabenje kano kabademu emotoka UAT 995A- Raum, Toyota Hiace UBH 437K ne ndala UBJ 676W.
Abantu abalala 3 bebasimatuse ne bisago.
Omuyigo ku badereva abaamazeemu omusubi gutandise