Amawulire
Mayiga atendereza eyaliko Katikiro Martin Luther Nsimbirwa
Bya Ivan Ssenabulya,
Kamala byonna wa Buganda Charles Peter Mayiga, atangaziza obukulu bwe byenjigiriza mu kukyusa embeera za bantu ne byenkulakulana.
Bino abyogeredde mu musomo ogutegekeddwa okujjukira eyaliko katikiro wa Buganda Martin Luther Nsibirwa e Makerere.
Mayiga agambye nti omugenzi wakujjuirwa nyo olwomukululo gweyaleka mu byenjigiriza bye ggwanga lino ne mu buvanjuba bwa Africa okutwaliza awamu.
Omugenzi Nsibirwa ajjukirwa okuba nti yawaayo ettaka eri abazungu kwebazimba essomero lya Makerere College mu mwaka gwa 1945, ekirowoozo abamu ku baganda kye baali basimbidde enkuuli.
Omusomo gwokujjukira omugenzi Nsibirwa kye kimu ku bukujuko aba Makerere university bye bategese mu kuweeza emyaka 100 nga baweereza.
Katikkiro, Martin Luther Nsibirwa, yakubwa masasi gegamutta ku wankaki wekanisa ya bakristaayo eye Namirembe Cathedral, bweyali akedde okwetaba mu kusaba kwokumakya.
Yattibwa September wa 1945.