Amawulire
Ebikwekweto kubatunda ebikozesebwa mu byóbulimi ebitali ku mutindo bigenda mu maaso
Bya Prossy Kisakye,
Minisitule evunanyizibwa ku byóbulimi nóbulunzi enyikiza ebikwekweto ku batunda ebikozesebwa mu kulima nóbulunzi ebitali ku mutindo.
Ebikwekweto bitunulidde nyo essigo, ebigimusa néddagala nga kino kigenderedwamu okulaba nti abalimi bataasibwa okuva eri abafere abeefubiridde okutunda ebintu ebitali ku mutindo.
Okusinzira ku Fred Muzira, eyetegereza ebikozesebwa mu byobulimi nóbulunzi okuva mu minisitule, bakyalina okusomozebwa okwa abantu na ddala mu byalo abadamu ne pakinga ebintu bino ekyongera okutumbula obufere obukolebwa mu bikozesebwa mu byobulimi nobulunzi.