Amawulire
Katikkiro atongoza emigyoozi gyémisinde gyámazaalibwa ga Kabaka
Bya Prossy Kisakye,
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alangiridde enteekateeka entongole egenda okugobererwa mu kudduka emisinde gy’amazalibwa g’Omutanda ag’emyaka 67 era natongoza n’olukiiko olugenda okuteekateeka emisinde gino.
Ssabasajja Kabaka yasiimye emisinde gino giberewa nga 3 omwezi ogw’omusanvu mu Lubiri lwe olwe Mengo, era gigenda kubeera misinde gya mulundi gwa 9 nga gitegekebwa okuva lwe gyatandika mu 2014.
Emisinde gino mu kusooka gyali gyakuberawo mu mwezi ogw’okuuna omwaka guno kyokka Omuteregga yasangibwa ku mirimu emitongole emitala wa Mayanja.
Katikkiro olukiiko lwatongoza okuteekateeka emisinde gino lukulirwa ssentebe Al Hajji Twaha Kawaase Kigongo omumyuka asooka owa katikkiro, amyukibwa owek Hnery Moses Ssekabembe Kiberu minister w’ebyemizannyo, omuwandisi ye ssenkulu wa Majestic Brands omukungu Remmy Kisakye, kuliko Owek Dr Prosperous Nankindu Kavuma, Owek Noah Kiyimba ne Maj Stanley Musaazi.
Bwabadde etongoza emisinde gino olwaleero wano mu bimuli bya Bualnge e mengo, Owek Charles Peter Mayiga, asabye abantu ba Kabaka okujjumbira okugula emijoozi gy’emisinde, kuba ensimbi ezinavamu zigenda kuyamba mu kulwanyisa obulwadde bwa mukenenya.
Ssentebe w’olukiiko oluteekateeka emisinde gino, Owek Prof Twaha Kawaase Kigongo, akunze obuganda okugwayo bajjuze olubiri nga akabonero akalaga nti babadde n’enyonta olw’omuggalo gwa covid 19.
Abavugirizi abakulu ab’emisinde gino okuli Airtel, DFCU, UNAIDS, CBS ne BBS Terefayina beyamye okukola buli ekisoboka okuteekateeka emisinde egijjayo ekitiibwa ky’Omutanda.
Ssenkulu wa Majestic Brands, omukungu Remmy Kisakye, agambye nti ku mulundi bafulumiza emijoozi emitwalo 8 era gigula shs omutwalo gumu n’ekitundu era nakakasa nti gyatuuse dda ku katale.