Amawulire
Mayiga akubiriza abakyala okukola enyo
Bya Ivan Ssenabulya,
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akinoganyiza nti obwakabaka okuddamu okunyikiza enkola y’abantu okuwasa n’okufumbirwa nga bakyaali, kkubo ddene nnyo erigenda okwesigamwako okuzza Buganda kuntiko.
Katikkiro bino abyogedde asisinkanyemu abakulembeze ba bakyaala abakulisitaayo aba Mothers Union okuva mu bulabirizi bwe Namirembe, abakyaddeko ebbuga olwaleero.
Katikkiro agambye nti enkola y’okuwasa n’okufumbirwa esebengeredde nnyo olw’abavubuka naddala abawala okukulembeza ebyenfuna.
Katikkiro asabye abakyala ba Mothers Union, okukubiriza bakyala banabwe okukola ennyo, kuba obunafu bwabwe bwe businze okuvako emirerembe mu maka.
President wa Mothers Union, Nalongo Roselyn Bingi, agambye nti abakyala mu bulabirizi bwe Namirembe beetegefu nnyo okuwagira emirimu gy’obwakabaka, era ono yebaziza Sssabasajja Kabaka ne maama Nabagereka olw’okwagala ennyo abakyala.
Nalongo Roselyn Bingi Kawiso, asabye kati obwakabaka okwongera okusembereza abakyala ensisira z’ebyobulamu eyo mu byaalo gyebawangalira, era bano baguze emijoozi gy’emisinde gyamazalibwa g’omutanda egy’omwaka guno ezigenda okuberawo nga 3 july mu Lubiri e Mengo, emijoozi 50.