Amawulire
Bannamakolero basomozeddwa okukuuma omutindo
Bya Juliet Nalwooga
Bannamakolero basabiddwa okukola emirimu gyabwe n’obukugu, ebyamaguzi byabwe bwebinaaba byakuvuganya ku katale kensi yonna.
Bwabadde ayogerera mu musomo gwabannamakolero mu Kampala ssenkulu w’ekibiina omwegatira bannamakolero mu gwanga ekya Uganda Manufacturers Association (UMA), nga ye Daniel Birungi asomoozza bannamakolero okwolesa obukugu nómutindo mu byebakola byonna banguyirwe okubifunira akatale.
Bannamakolero abali mu 1,500 abegattira mu UMA basabiddwa okuziba emiwaatwa egiriwo, mu tambula yebyamaguzi.