Amawulire
Museveni asabye abasomesa okudda mu bibiina
Bya Damali Muhkaye,
PULEZIDENTI Museveni awadde abasomesa ba arts amagezi okudda mu kibiina basomese kuba gavumenti yeewaddeyo okukola ku kwemulugunya kwabwe.
Museveni bw’abadde asisinkanye obukulembeze bw’abasomesa okuva mu ggwanga lyonna e Kololo ku kisaawe, agambye nti wadde ng’abasomesa ba arts bakkaatirizza nti gavumenti erina okukozesa eby’obugagga ebiriwo okutumbula emisaala gyabwe, tekisoboka kuba kino tekigonjoola nsonga ya musaala.
Museveni agamba nti gavumenti yeeyama okusasulwa abakozi nga balungamizibwa enkola ekulemberwa ssaayansi ne technologia naye tekitegeeza nti beerabira abalala abatali basanyi.
Agambye nti baasalawo okukulembeza abatono ate abalala basobola okujja oluvannyuma ng’emu ku ngeri y’okumalirizaamu ekizibu kimu ku kimu
Wano waasaba abasomesa okudda mu kibiina kuba Gavumenti erina ensonga lwaki yasooka ba sayansi era tewali alina kubataataaganya.
Abasomesa bayise olukiiko olwamngu okusalawo ekiddako oluvanyuma lwokuwulira ebigambo bya pulezidenti.