Amawulire

Bannakyewa bagala Gavt okukomya ebyama

Bannakyewa bagala Gavt okukomya ebyama

Ivan Ssenabulya

August 22nd, 2022

No comments

Bya Mike Sebalu,

Bannakyewa abalungamya ku by’ensanyanya n’obwelufu bw’ensimbi za Government bawadde gavumenti amagezi okukoma ku nkola y’okukweka banna Uganda ebimu ku bibeera mu buwaayiro bw’endagaano zeteekako emikono, okutaasa eggwanga okufiirizibwa naddala nga waliwo ebitagenze bulungi.

Parliament emilundi mingi ewuliddwa ng’esika omugwa ne Gavumenti ku buwaayiro obumu mu ndagano, abakungu ba Government bwebatwala nga bwakyama, abamu ku babaka bwebagamba nti bumu kuzaalira eggwanga lino akabasa bannansi nebatuuka n’okusasulira ebintu byebatamanyi.

Kati Peter Wandera akulira Transperancy International wano mu Uganda, atubuulidde nti obuwaayiro nga buno bukoze kinene nnyo okuwagira ebikorwa eby’obukenuzi n’okuteekawo obutali bwelufu bwekituuka ku nkwatamu nesasaanya y’ensimbi.

Bano era baagala Government eteekewo n’ekitabo omuwandiikiddwa buli nsimbi eneewole banna Uganda gyebasasulako amagoba nga kilaga na ngeri ki amabanja ago gyegasasurwamu, munna Uganda asobola okumanya buli kalonda agenda mu maaso.