Amawulire
Gavt yeyamye okwongera okutumbula enkulakulana yábakyala
Bya Prossy Kisakye,
Gavumenti yeewaddeyo okutumbula abakyala okusobola okutumbula enkulaakulana mu by’enfuna.
Bwabadde awa obubaka bw’omumyuka wa pulezidenti mu lukung’aana lwa COMESA Women in business trade affair and business conference olw’omulundi ogw’okusatu ku Uganda museum mu Kampala, minisita w’ekikula ky’abantu, Betty Amongi agambye nti waliwo enteekateeka za gavumenti eziwerako eziteekeddwawo okuyamba abakyala okwenyigira mu by’enfuna.
Anokodeyo enteekateeka ya Uganda Women Entrepreneurship, Women Skilling Program ne Women Banking n’endala.
Amongi alaze obwetaavu obw’okunyweza abakyala okwenyigira mu bizinensi kuba bangi abakola bafuuse bigo by’amaka gaabwe n’ab’eŋŋanda zaabwe obutafaananako n’abasajja abafuna ssente ne bazisaasaanya ku bakyala n’ebintu ebirala ebitaliimu makulu.
Mungeri yeemu akulira ekibiina kya Uganda Women Entrepreneurs Association Limited (UWEAL) Connie Kekihembo asabye gavumenti okuwagira abakyala mu bizinensi okusumulula obusobozi bwabwe.
Buyondo agambye nti abakyala bangi tebalina bukugu bwa kutandika bizinensi bw’ogeraageranya n’abasajja sso ng’ate abalina bizinensi balina kapito mutono okuzigaziya.
ategeezezza nti nga kapito mutono kizibu nnyo okutegeera obusobozi bw’ebirowoozo byabakyala ebya bizinensi.