Amawulire
Ababaka 15 basunsuddwa okuvuganya mu banakikirira Uganda mu EALA
Bya Damali Mukhaye ne Prossy Kisakye,
Palamenti esunsudde abantu abalala okuvuganya ku bifo ebyabanakikirira Uganda mu palamenti ya East Africa.
Omulimo gwokusunsula gutandise nkya ya leero ku palamenti era, omuwandiisi wa palamenti asunsudde abantu 15 okuvuganya ku bifo 9 uganda byerina mu palamenti yomukago.
Mu basunsuddwamu kuliko eyali omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Buyende, Veronica Kadogo, Jacquiline Amongin, Julius Buchana, Dr Dennis Kapyata, Daniel Muwonge, Stella Kiryowa, Phiona Rwanda ne Patience Naamara bonna beesimbyewo kubwa nnamunigina.
Stella Kiryowa omu ku baagala okukiikirira Uganda mu palamenti y’obuvanjuba bwa Afrika, yeeyamye okunoonya akatale k’ebintu bya Uganda mu kitundu kino.
Bino yabyogedde bw’abadde ayogera eri bannamawulire ku palamenti oluvannyuma lw’okusunsulwa.
Ebifo 6 ku 9 Uganda by’erina mu palamenti ya EALA NRM yabyesooka, ekimu kya independent ate bibiri bya bibiina ebivuganya gavt mu palamenti.
Akabondo ka babaka ba palamenti abava mu NRM ku Lwokutaano kasemba ababaka 6 ababaddeyo mu palamenti okusigalayo ekisanja ekirala kimu.
Bano era basemba n’abalala babiri; omu okuva mu kibiina kya Uganda People’s Congress (UPC) ne Democratic Party (DP).