Amawulire
Mao asabye Museveni okunonya ebisigalira bya Benedicto Kiwanuka
Bya Ruth Anderah,
Minisita w’ebyamateeka eranga ye pulezidenti w’ekibiina ekivuganya gavumenti ekya Democratic Party (DP) Nobert Mao azzeemu okusaba gavumenti okunoonya ebisigalira by’omugenzi eyaliko Ssaabalamuzi weggwanga lino Benedicto Kiwanuka.
Omugenzi Kiwanuka eyaliko omukulembeze wa DP era nga ye Ssaabalamuzi wa Uganda eyasooka mu 1972, abajaasi abaali bakolera ku biragiro bya Pulezidenti Idi Amin Dada mu kiseera ekyo baamuggya mu yafeesiye mu Kkooti Enkulu mu Kampala ne bamutwala mu bbaalakisi y’amagye e Makindye gye baamuttira.
Wabula oluvannyuma lw’emyaka 50, ebisigalira bya Kiwanuka eyandibadde awezezza emyaka 100 nakati tebizuulibwanga era amawulire agamu galaga nti oluvannyuma lw’okuttibwa, omulambo gwe gwannyikibwa mu Acidi ne gusaanuuka.
Bwabadde ayogerera ku mukolo ogwokujjukira bwegiweze emyaka ataano bukya attibwa ogubadde ku kkooti enkulu mu Kampala, Mao asabye Pulezidenti Museveni okuyambako okunoonya obwenkanya ebisigalira bya Kiwanuka ne bwebiba mungeri ya linnyo limu, basobole okuwa omukulembeze w’ekibiina kyabwe eyakitandikawo ekitiibwa nga bamuwa amaziika amalungi.
Mungeri yemu Omukulembeze wa Uganda Law Sociey eyaakalondebwa Bernard Oudo ayogedde ku Mugenzi eyali Ssaabalamuzi wa Uganda eyasooka Benedicto Kiwanuka nga munnabyabufuzi atalina eyali ayagala enyo ensiye nenfuya eyamateeka nobwenkanya bannamateeka bobudde buno gwebalabirako.