Amawulire

Abakafa Ebola baweze 23

Abakafa Ebola baweze 23

Ivan Ssenabulya

September 26th, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga ne Prossy Kisakye,

Minisitule eye byóbulamu etegezeza nga omuwendo gwa bantu abakafa ekirwadde kye Ebola bwegulinye okutuuka ku 23.

Kino kidiridde abantu abalala 2 okufa ekirwadde mu ddwaliro ekkulu e Mubende kati omuwendo gwabakafa Ebola guli ku bantu 5 ate abafudde naye nga bateberezebwa okuba ne Ebola omuwendo guli ku bantu 18

Okusinzira ku mwogezi wa minisitule eye byobulamu Emmanuel Ainnebyona, mu ssaawa 24 eziyise abantu 36 bebalina ekirwadde.

Azzeemu okulabula abantu babulijjo okugondera ebiragiro ebyobulamu okwewala okufuna obulwadde buno.

mungeri yemu ekibiina kyébyóbufuzi ekya FDC kisabye bannauganda okwerinda ekirwadde kye Ebola.

mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina e Najjanankumbi, omwogezi wa FDC, iBRAHIM SEMUJJU NGANDA, asabye ne gavumenti okutuusa obujjanjabi obwobwerere eri bonna abalina ekirwadde kino.