Amawulire
Museveni alagidde Minisita okunonyereza ku mivuyo egiri mu butale
Bya Juleit Nalwoga,
Omukulembeze w’eggwanga YK M7 alagidde minister wa Kampala Minsa Kabanda okukola okunoonyereza okuzuula ebigambibwa nti abasuubuzi mu butale bwa Government obwa KCCA babasolozaako ensimbi ezisukiridde.
Okuzinziira ku bbaluwo eyatekebwako omukulembeze w’eggwanga nga 2/10/2002 ngegenda eri Minista Kabanda, President agamba nti yafunye okumanyizibwa nga abasuubuzi b’omubutale abasoba mu mitwalo 40 bwebajjibwako emisolo egisukka mu mulundi ogumu.
President agamba nti waliwo n’abamu ku bakulembeze b’obumu ku butale abefunyiridde okububba nga bakyusa ebyapa byabwo okubizza mu mannya gwabwe.
Ono era ayagala Minister aveeyo n’ekiwandiiko akyanjulira olukiiko lwa ba Minister nga kiwa endowooza eyandibadde enkolebwa okumalawo okusomooza okwengenri eyo.
Obutale bwa Government obwa KCCA obwogerwako kwekuli aka Usafi, Owino, Wandegeya, Kisekka, Gaba wamu, Bugoloobi n’obulala.