Amawulire
Museveni ayimiriza emirmu gy’abasamize mu ggwanga
Bya Benjamin Jumbe,
Omukulembeze w’eggwanga alagidde abasawo bekinnansi bonna obutadamu kukola mirimu gyabwe mu ggwanga lino.
Kino kiddiridde okufa kwa Twagiira Yezu Ndahiiro, eyafuna ekirwadde kye Ebola ate natoloka mu kifo weyali ayawuliddwa e Mubende naanonya obujjanjabi okuva ew’omusawo w’ekinnansi e Luwero nga tannatwalibwa Kirundu.
Pulezidenti era agambye nti bannaddiini tebalina kusabira abalwadde abalina obubonero bwa bulwadde bwa Ebola, era n’alagira abavuzi ba boda obutatambuza muntu yenna alina obubonero obw’engeri eno
Bweyabadde ayogerako eri eggwanga akawungeezi akayise ku bikwata ku kirwadde kino pulezidenti era yalabudde abantu abakyekwata mungalo.
Ono era yakkaatirizza obukulu bw’abasawo okuba ne byetaagisa byonna okwekuuma obutafuna bulwadde okuva ku balwadde babwe.