Amawulire
Munnamateeka addukidde mu Kkooti ngáwakanya ebiragiro bya Ssabalamuzi
Bya Ruth Anderah,
Munnamateeka w’omu Kampala Steven Kalali addukidde mu kkooti etaputa Semateeka nga awakanya ebilagiro ebijja ku kweyimilira abasibe ebyayisiddwa Ssabalamuzi Alfonse Owiny Dollo.
Kalali mu mpaabaye agamba nti Ssabalamuzi yabuuse obuyinza obumuweebwa ssemateeka bweyakoze ennongosereza mu mateeka agakwata ku kweyimirira abo abagambibwa okuzza emisango egyannagomola nga kati obuyinza okuwa omuntu okweyimiriwa ali ku misango eminene bwateereddwa mu kkooti enkulu
Kalali agamba nti nga ebilagiro ebijja tebinafulumizibwa, Ssemateeka abadde awa eddembe omusibe ali ku musango gwannaggomola okusaba okweyimirirwa mu kkooti ento singa emyeezi 6 zigwako nga ali mukomera naye nga okunonyereza tekunaggwa.
Wabula mu bilagiro ebipya ebyatongozebwa 27/7/2022 biragira omulamuzi yenna ali mu musango ogwanaggomola ku mutendera ogwa wansi okuteekateeka fayilo y’omusango guno agusindike eri Kkooti enkulu yeeba esalawo kukweyimirirwa kwe.
Kalali agamba nti bino byonna bibeera bilinyilira obuyinza obwatekebwawo semateeka.
Ono era agamba nti Ssabalamuzi, ekyokwebuuza ku bannansi yakibuusa amaaso nga bwekilagirwa mu mateeka naddala nga wanaabwo enongosereza egenderera okukwata ku muntu wa bulijjo.
Kati ayagala Kkooti etaputa ssemateeka ejira eteeka envumbo ku bilagiro bino bireme kukola okutuusa ng’okuwulira omusango gwe kuwedde.