Amawulire

Poliisi yakufulumya ebinaava ku kwekebeja bamuzibe abafiiridde mu Muliro mu Wiiki ejja

Poliisi yakufulumya ebinaava ku kwekebeja bamuzibe abafiiridde mu Muliro mu Wiiki ejja

Ivan Ssenabulya

October 27th, 2022

No comments

Bya Diphas Kiguli,

Poliisi etegeezezza nga ebinaava mu kwekebejja ebisigalira by’abaana abamuzibe abafiiridde mu muliro ogwakutte ekisulo kyabwe wali e Mukono bwebujja okufulumizibwa sabiiti ejja.

Abayizi 11 bebafiira mu muliro guno  era ng’ayogerera Poliisi mu bitundu bya Kampala nemilirano Patrick Onyango atubuulidde nti okujja ku bazadde b’abaana bano n’abenganda omusaayi kwakomekkeredde lunaku lwa ggyo.

Abazadde 13 bebalabiseeko ku Poliisi e Naguru okuwaayo endaga buttoned zaabwe.