Amawulire
Katikkiro akubiriza bannauganda okutasaagira mu kirwadde kye Ebola
Bya Prossy Kisakye,
Katikkiro w’Obwakabaka bwa Buganda, Charles Peter Mayiga akubiriza bannayuganda okutwala ekirwadde kya Ebola mu ggwanga nga kya maanyi era kyabulabe nnyo bakyekuume.
Bino abyogedde bwabadde ayaniriza omubaka wa Bungereza, Kate Airey, agenyiwaddeko e Mbuga e Bulange Mengo olunaku lwaleero.
Mayiga agamba nti singa Bannayuganda tebagoberera biragiro ebyateereddwawo okutangira obulwadde buno gavumenti egenda kuwalirizibwa okulangirira omuggalo omulala.
Awadde abantu amagezi okugenda mu malwaliro mu bwangu singa bafuna obubonero obulinga obwa Ebola era asabye bannaddiini naddala abasiraamu obutasima mirambo gy’abantu abafudde Ebola
Mungeri yeemu Ambasada Kate, asiimye obwakabaka bwa Buganda olw’okusaasira okuva ku mutima kwe bwaweereza e Bungereza oluvannyuma lw’okufa kwa Nnabagereka Elizabeth 11.
asuubizza enkolagana nga bungereza bwegenda okwongera okukolaganira awamu ne Buganda ne Uganda okutwaliza awamu naddala ku nteekateeka z’enkulaakulana ezigenderera okusitula obulamu bw’abaavu