Amawulire
E Masaka basattira omuwala owemyaka 23 afudde Ebola
Bya Gertrude Mutyaba,
Abannansi mu disitulikiti eye Masaka bali mu kusattira oluvanyuma lwomuwala atemera mu gyobukulu 23 okufa ekirwadde ekye Ebola.
Okusinziira kw’avunaanyizibwa kubyémirimu mu ddwaliro ekkulu e Masaka, Charles Tumushime, omuwala Ono yava mu kitundu kyé Kabowa mu kibuga Kampala nga 27 omwezi oguwedde nga alina olubuto lwa myezi esatu kyokka neruvaamu, bazadde be nebasalawo okumutwala mu ddwaliro lya St Joseph’s Clinic erisangibwa mu Kimaanya A mu kibuga Masaka okufuna obujanjabi.
Tumushime agamba nti wabula nga ennaku z’omwezi 31, baafuna omuwala ono ku ddwaliro e Masaka nga alina obubonero bwa Ebola, era yagyibwako sampolo okuva Entebbe nebakakasa nti alina Ebola era mu kiro ekikeesezza olwa leero, yaddusiddwa Entebbe gyafiiridde.
Tumushime ategeezezza nga bazadde b’omuwala ono webaafuniddwa edda era nga baateereddwa mu kifo webaawulira abalwadde ba Ebola e Kampala.
Akulira eddwaliro ekkulu e Masaka Dr James Elima asinzidde wano naategeeza nga webataddewo emitendera gy’okukwasaganyaamu Ebola omuli obutakkiriza muntu yenna kuyingira ddwaliro nga tanaabye mu ngalo saako n’okubakebera ebbugu lyómubiri.
Dr Elima akubirizza abantu obutetantala kumala gakwata buli webasanze kyokka naalabula abakongola ensenene okwegendereza nga bazikongola mu ngeri ey’obuyonjo.