Amawulire

Abatuuze kibawedeko bwebagudde kuntaana 5 ezabbiddwamu obuwanga

Abatuuze kibawedeko bwebagudde kuntaana 5 ezabbiddwamu obuwanga

Ivan Ssenabulya

November 15th, 2022

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Ensisi ebutikidde abatuuze ku kyalo Bugoto A mu gombolola y’e Bukaboli e Jinja bwe bagudde kuntaana 5 ezabiddwamu obuwanga bwa bafu.

Mustafa Mulyalya omutuuze mu kitundu kino ategeezezza nti omugenzi omu yali yafa emyaka amakumi abiri egiyise.

Mulyalya agamba nti abatuuze baatiisiddwa bwe baasanze amagumba waggulu ku ntaana nga tegaliiko buwanga.

agambye nti entaana zasangiddwa nga ziggule abaana ababadde bagenze okunoga emmwaanyi mu lusuku.

Abatuuze batebereza nti abasawo be kinnansi baliko bebalimbye ne babatuma obuwanga okubawa obuggaga.