Amawulire
Tayebwa alagidde ekisulo kyábayizi ku UCI kisengulwe-Abayizi bali mu bulabe
Bya Ndaye Moses,
Omumyuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa alagidde abaddukanya eddwaliro lya Uganda Cancer Institute okunoonyereza ku mawulire agalaga nti abakozi basindika abalwadde okugula eddagala okuva mu maduuka g’eddagala ag’obwannannyini songa balina kulifuna kuddwaliro ku bwerere.
Tayebwa abadde mu kulambula ddwaliro lino enkya ya leero, agamba nti afunye okweraliikirira nti abeeddwaliro nga baweebwa ensimbi eziriddukanya okuva mu gavt ate basindika abalwadde n’abalabirira mu bifo by’obwannannyini okugula eddagala ery’enjawulo erya kookolo kyokka nga eddagala lino lya bwereere.
Wabula Mungeri y’emu Ssaabaminisita Robinah Nabbanja asabiddwa okulagira minisitule y’ebyenjigiriza nabakulu beddwaliro lino okukyusa ebisulo by’abawala ebisangibwa mu kiseera kino okumpi ne kyuuma kya radiology ekikalirira abalwadde ba kkokolo.
Kino kiddiridde omumyuka wa sipiika okutegeezebwa nti abayizi bawangalira mu bulamu obubi enyo nga basemberedde ekyuuma kino.