Amawulire
Ababaka abayisiraamu bavudeyo kubakulembeze ba basiramu abakwatibwa
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina omwegatira ababaka ba palamenti abasiraamu, kitiisizza okukunga Abasiraamu okwetoloola eggwanga okwekalakaasa nga bawakanya eky’okukwatibwa kw’abakulembeze b’Abasiraamu okugenda mu maaso mungeri emenya amateeka.
Kino kiddiridde Sheikh Yahaya Mwanjje okukwatibwa mu ssabiiti ewedde era naggalirwa.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku palamenti, ssentebe w’ekibiina kino era nga ye omubaka wa Munisipaali y’e Bugiri Asuman Basalirwa, ategeezezza nti si kya bwenkanya gavumenti bulijjo okulumba Emizikiti n’okukwata b’amaseeka nga tegoberedde mitendera mituufu.
Agambye nti ne bwebaba bakwatiddwa bayita babeera mu kkomera okumala ebbanga ddene nga tebtwalibwa mu kkooti mu kiseera ekituufu nga bwe kirambikiddwa mu ssemateeka.
Basaalirwa era ayagala abasiraamu abalala bonna abasibirwa mu makomera agenjawulo okuleetebwa mu kkooti naatiisatiisa okuwawaabira gavumenti n’abebyokwerinda ssekinnoomu abavunaanyizibwa ku bikolwa bino.
Omumyuka wa Imam wekibiina kino, era omubaka wa Katikamu South Hassan Kirumira ategeezezza nga bwebatagenda kutunuulira kulaba bakkiriza bannaabwe nga bawambibwa mu ngeri emenya amateeka.
Mungeri yemu ababaka bemulugunya olwa bakuuma ddembe abalumba emizikiti ne bayingira ne ngato zabwe ekitakkirizibwa munzikkiriza yaabwe.