Amawulire

Abakakiiko kéddembe lyóbuntu bakunonyereza ku bantu abazze bawambibwa

Abakakiiko kéddembe lyóbuntu bakunonyereza ku bantu abazze bawambibwa

Ivan Ssenabulya

December 6th, 2022

No comments

Bya Ndaye Moses,

Akakiiko akavunaanyizibwa ku ddembe ly’obuntu mu Uganda aka UHC kagamba nti katandise omuyiggo mu ggwanga lyonna okusobola okufuna abawagizi b’ekibiina kya National Unity platform abagambibwa okuba nti bali mu mikono gy’ebitongole by’ebyokwerinda.

Gye buvuddeko ekibiina kya National Unity Platform kyawandiikira akakiiko kano nga baagala kayingire mu nsonga eno, kayambeko okuleeta abawagizi abagambibwa okuba amakumi abiri mu bataano abateeberezebwa okuba nga baawambibwa wakati wa 2019 ne 2022.

Okusinziira ku Crispin Kaheru, Kaminsona mu kakiiko kano, bagenda kukolagana n’ebitongole by’ebyokwerinda eby’enjawulo okulaba ng’abantu aboogerwako balabika.

Abakulembeze ba NUP balumiriza nti abantu ababuzibwawo okusinga bawagizi babwe

Mungeri yemu akakiiko ke ddembe lyobuntu kategeezeza nga bwekasindise tiimu ya bantu abagenda okugenda mukomera okusisinkana senkagale wekibiina kya NEED joseph Kabuleta balabe embeera mwali.