Amawulire

Uganda efunye Doozi z’eddagala ery’okugezesa mu kugema Ebola

Uganda efunye Doozi z’eddagala ery’okugezesa mu kugema Ebola

Ivan Ssenabulya

December 8th, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Uganda efunye ddoozi ze ddagala 1200 bannansayansi zebagenda okugezeserezaako mu okugema ekirwadde kye Ebola.

Eggwanga lyakakakasa abantu 142 abakakwatibwa obulwadde bw’e Ebola akawuka akaava e Sudan, nga 55 be bafudde, okuva obulwadde lwebwalangirirwa muggwanga mu mwezi ogwo 9

Bwabadde awaayo eddagala lino, Dr. Charles Njuguna, okuva mu kitongole ky’ebyobulamu ekyensi yonna, ategeezezza nti eddagala lino lya kugezesa era nga n’okutuusa kati tewannabaawo ddagala likkirizibwa eriyinza okukuuma abantu obutakwatibwa kirwadde kye Ebola.

Minisita ow’eby’obulamu mu ggwanga Dr. Ruth Aceng ategezeza nti bagenda kusooka kugema abo abaliko na balwadde ba Ebola mpozi na balwadde bennyini.