Amawulire

Mayiga akubiriza abavuzi bébidduka obutavuga ndiima mu biseera bino

Mayiga akubiriza abavuzi bébidduka obutavuga ndiima mu biseera bino

Ivan Ssenabulya

December 9th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubiriza abakozesa enguudo obutavuga sipiidi n’okuvuga nga batamidde kibayambe obutakola bubenje mu budde buno obwennaku enkulu.

Bino abyogedde enkya ya leero bwabadde akwasa abaddukanya eddwaliro lya Nkozi Rotary Hospital ceeke ya bukadde bwa shs 138 nga egendereddwamu okugula ebikozesebwa mu ddwaliro lino.

Eddwaaliro lino limanyiddwa nnyo olw’okukunganyizibwako ababeera bagudde ku bubenje ku luguudo lw’e Masaka ekitera okubaawo mu biseera by’ennaku enkulu.

Mayiga agamba nti obubenje buno obusinga buva kukuvuga endiima n’okuvuga ng’otamidde ekiyinza okwewalibwa okutaasa obulamu bw’abantu abatalina musango abafiira mu bubenje obw’engeri eno.