Amawulire

Gavt erabudde abantu kunkozesa yénguudo munnaku enkulu

Gavt erabudde abantu kunkozesa yénguudo munnaku enkulu

Ivan Ssenabulya

December 20th, 2022

No comments

Bya Ben Jumbe,

Gavumenti erabudde abantu ku kukozesa enguudo mungeri etasaana mu kiseera kino eky’ennaku enkulu.

Okulabula kuno kukolebwa minisita w’emirimu n’ebyentambula Gen.Edward Katumba Wamala bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku Uganda media center mu Kampala oluvannyuma lw’obubenje obubaddewo obutta abantu 83 n’okuleka abasaabaze 297 nga balumiziddwa mu wiiki emu yokka.

Minisita awadde baddereeva amagezi okutegekera olugendo lwabwe obulungi n’okunywerera ku bupande bw’enguudo, okwewala okuvuga nga banyweddemu n’okukozesa amasimu nga bavuga.

Alabudde nti bonna abanakwatibwa mu kutyoboola amateeka gókunguudo bakwatibwa bavunaanibwe

Mungeri yemu dayirekita avunanyizibwa ku bukuumi bwokunguudo Lawrence Nuwabiine agambye nti bagenda kweyambisa kamera zabwe okulondoola abavuzi bendiima.