Amawulire

Abantu 55 bebafiiridde mu bubenje bw’okunguudo mu nnaku za Ssekukulu

Abantu 55 bebafiiridde mu bubenje bw’okunguudo mu nnaku za Ssekukulu

Ivan Ssenabulya

December 28th, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Poliisi etegeezezza nga omugatte gw’abantu 55 bebafiiridde mu bubenje bw’okunguudo okwetoloola eggwanga mu nnaku nnya zokka mu sizoni ya ssekukkulu okuva nga 23rd -26th December.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya poliisi e Naguru, omwogezi wa Poliisi y’ebidduka, Faridah Nampiima ategeezezza nti abantu 55 bano bava mu bubenje obuwera 267 obwagwawo okwetoloola eggwanga nga bwaleka n’abantu abalala 212 balumiziddwa.

Abamenyi b’amateeka abasoba mu 3,500 be baakwatibwa mu kiseera kye kimu.

Mu kiseera kye kimu wabula agambye nti wabadewo okukendeera ku muwendo gw’obubenje bwokunguudo omwaka guno okutuuka ku 267 okuva ku 272 obwatuukawo mu 2021.

Nampiima asabye abavuzi b’ebidduka nábantu abatambulira ku mabbali genguudo okubeera abegendereza enyo naddala mu kumalako omwaka.