Amawulire
Burora asabye minisitule elemese abakungu abanonyerezebwako okuva mu ggwanga
Bya Prossy Kisakye,
Omubaka wa gavumenti atuula mu gombolola yé , Anderson Burora asabye minisitule y’ensonga z’omunda okulemesa abakungu abali mu kunoonyereza ku mivuyo gy’okuzimba emwala gy’e Lubigi obutafuna Visa kuva mu ggwanga.
Banka y’ensi yonna yawaayo obukadde bwa doola 183.7 eri ekitongole kya Kampala Capital City Authority okukola okunoonyereza, n’okuzimba omwala gwéLubigi oluvannyuma lw’okuliyirira abaakosebwa ettaka pulojekiti w’eyita.
Wabula Omwaka oguwedde Burora yayimiriza emirimu gy’okuzimba omwala guno nga alumirira nti waliwo obutali bulambulukufu mu kuliyirira abakosebwa mu pulojekiti eno.
Kati Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire mu ofiisi ye e Lubaga ku ofiisi ye , Burora agambye nti abakungu abeenyigira mu mivuyo gy’okuliyirira abantu bómu Lubigi bafunye amawulire nti batandise okusaba Visa badduke mu ggwanga nga nókunonyereza tekunagwa.
Agambye nti amannya g’abakungu bano bakugasindika mu minisitule y’ensonga z’omunda okubalemesa okutoloka.