Amawulire
Polisi esabiddwa okuyingira munsonga zókutulugunya abalwadde e Butabika
Bya Mike Sebalu,
Omukago gw’abalwanirizi b’ebyobulamu bw’obwongo gusabye poliisi mu bbanga lya myezi 2 okunoonyereza n’okukola alipoota ku kutyoboola eddembe ly’obuntu ku bantu abaliko obulemu ku bwongo ebigenda mu maaso munda mu ddwaaliro e Butabika.
Kino kiddiridde amawulire okulaga nti abateberezebwa okuba abalina obuzibu ku bwongo bakakibwa okuweebwa ebitanda, n’okuteekebwa kubujjanjabi, okuboolebwa nokutulugunyizibwa ku mibiri gyabwe.
n’ebirala.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire okuva mu ofiisi za Mental Health Uganda mu Kampala, Patricia Atim, akulira ebyamateeka mu baliko obulemu ne ddembe lyabwe e Makerere University, era nga mmemba w’omukago agambye nti okusinziira ku byogerwa ku ddwaaliro e Butabika, okunoonyereza okujjuvu , kusanye okukolebwa mu bwangu.