Amawulire
Aba UHRC bafulumiza alipoota ku bawagizi ba NUP 25 ababuzibwawo
Bya Prossy Kisakye,
Akakiiko akavunaanyizibwa ku ddembe ly’obuntu aka Uganda Human Rights Commission olwaleero kafulumizza byebazuudde ku bantu 25 abawagizi bekibiina kye byobufuzi ekya nup abagambibwa okuwambibwa abakuuma ddembe.
Bano baakwatibwa ne baggalirwa mu kulonda nóluvanyuma lwokulonda kwa bonna okwa 2021.
Bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku ofiisi za kakiiko mu Kampala enkya ya leero, Ssentebe w’akakiiko kano, Mariam Wangadya, ategeezezza nga bwebafuna olukalala lw’abantu 25 okuva mu bukulembeze bwa NUP abagambibwa okuba nti baakwatibbwa ne baggalirwa mu bifo eby’enjawulo.
Wabula okusinziira ku bizuuliddwa akakiiko, Wangadya alaze nti 7 ku 25 baayimbulwa okuva mu kkomera, mu December w’omwaka oguwedde.
Agamba nti ku musanvu bano 3 bagulwako emisango egyannagomola ate 4 balabikako mu kkooti ku nsonga z’obumenyi bw’amateeka,omuli okwonoona ebintu byeggwanga kyokka oluvannyuma ne bayimbulwa ku kakalu ka kkooti.
Mungeri yeemu alaze nti akakiiko kakyanoonyereza ku bantu 18 abakyabuze. Asabye abantu bonna abalina amawulire ku mayitire gabantu bano okutegeeza akakiiko.
Cue Wangadya on report Lug
Ono era anenyezza obukulembeze bwa National Unity Platform okulumiriza nti akakiiko tekalina kye kakola kuwa bwenkanya aba famire z’abantu abaabuzibwawo.