Amawulire
Omusango gw’ababaka teguwuliddwa
Bya Malik Fahad,
Okuwulira okweyimilirwa kw’ababaka Allan Ssewanyana ne Mohamad Ssegirinya okubadde kusuubirwa okubaawo leero mu Kkooti enkulu e Masaka kugudde butaka.
Kiddiridde abawaabi ba Gavumenti okutegeeza omulamuzi Lawrence Tweyanze nga bwebatabadde beetegefu kugenda mu maaso n’omusango gw’okuwulira okweyimilirwa kwabasibe ababiri nga bakyaalina omusango omulala ku bantu bebamu mu Kkooti ey’enjawulo mu bitundu eby’e Kampala.
Bano bategeezeza omulamuzi nga eky’okutambula mu mbuga ez’emilundi ebiri bwekijja okubabeerera ekizibu era ne basaba basooke bamalirizeko omusango ogumu oguli e Kampala n’oluvanyuma balyoke batandike ku mulala.
Bino olugudde mu matu g’omulamuzi naye kwekutegeeza bannamateeka b’oluuyi oluwawabirwa nga olunaku lwa leero Kkooti bwetabadde yakuwulira kweyimilirwa kw’abasibe bano wabula lwabadde lwakwanja musango eri enjuuyi zombie zigutegeere.
Era wano omulamuzi wasinzidde nateekawo ennaku z’omwezi olwa 13, 14 ne 15th omweezi ogujja ng’ennaku ez’okuwulirirako okusaba kw’okweyimilirwa okw’ababaka bano.
Oluvanyuma munnamateeka wabwe omukulu Erias Lukwago ayogeddeko ne bannamawulire ku ebyo ebilabikidde mu kkooti.
Lukwago era atubuulidde nga bwebakozeesa n’omukisa guno okutegeeza omulamuzi ku bulamu bw’omu ku babawabirwa Allan Ssewanyana.
Ababaka bavunanibwa emisango okuli egy’obutemu, okugezaako okutemula wamu n’okwengira mu bikorwa eby’obutujju mu biseera ebyaba kijambiya ebyaliwo mu bendobendo lya Masaka mu mwaka ogwa 2021.