Amawulire
Abakikirira abakozi bagala KKampuni eggwiira enonyereze ku mivuyo egiri mu NSSF
Bya Rita Kemigisa,
Abakiikirira abakozi basabye palamenti okufuna kkampuni y’ensi yonna emanyiddwa ennyo mu kubala okunonyereza kungeri ekitongole kya National Social Security Fund (NSSF) gyekikwatamu ensimbi.
Ababaka ba Palamenti okuli; Arinaitwe Rwakajara, Agnes Kunihira, Margaret Rwabushaija ne Abdul Byakatonda ekiteeso kino bakikoze nga balabiseeko mu kakiiko akateekebwawo akanoonyereza ku nzirukanya yémirimu mu kitongole kya NSSF.
Rwakajara asabye akakiiko okulonda obwagazi okuzuula engeri obuwumbi bwénsimbi 100 obusoloozebwa buli mwezi NSSF gye bukozesaamu.
Agambye nti waliwo ebiseera ng’abaddukanya NSSF balwawo okuteeka ssente mu bintu zisobole okuzaala amagoba ate nga bakikola mu bugenderevu.
Kunihira ye asabye akakiiko kano okutunula mu nsimbi NSSF z’eteeka mu by’amayumba n’agamba nti y’evunaanibwa emivuyo gy’obuli bw’enguzi egigambibwa nti giri mu kitongole.
Mu mwaka 2021, NSSF yateekamu akawumbi kamu n’obukadde 100 mu by’amayumba era okusinziira ku Kunihira, ssente ng’ezo nnyangu kukwatibwa bubi.
Ssentebe w’akakiiko, Mwine Mpaka era awadde abakiise b’abakozi omulimu gwókunonyereza ku akawunti ezigambibwa okuba ezémpewo mu kitongole kino.