Amawulire
Ebigezo bya siniya eyókuna bikomyewo, abayizi bakoze bulungi
Bya Damali Mukhaye,
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu gwanga ki UNEB kitegeezeza ng’omuwendo gw’abayizi abagwa ebigezo ku mutendera gwa siniya ey’okuna bwegukendedde oluvanyuma lw’abo abayise omwaka oguwedde okusinga kw’abo abomwaka gwa 2020.
Daniel Odongo, ssabawandiisi wa UNEB ategeezezza nga omugatte gw’abayizi emitwalo 34 mu 5, 695 bebatuula ebigezo nga emitwalo 34 mu 5,945 bebewandiisa.
Odongo ategeezezza nga abayizi emitwalo 4 mu 6,667 bayitidde mu daala erisooka, emitwalo 7 mu 6,745 bayitidde mu daala lyakubiri, emitwalo 8 mu 8,690 mu daala lya kusatu and emitwalo 11 mu 7,837 nebayitira mu daala ely’okuna.
Omugatte gw’abayizi omutwalo 1 mu 5,756 balemereddwa okuyita ebigezo era nga tebalina magezi Malala okujjako okuddamu ekibiina bwebaba nga banayagala okweyongerayo ku mutendera oguddako.
Ate ye Sentebe w’ekitongole ekivunanyizibwa ku bigezo mu gwanga ki UNEB Prof Mary Okwakol ategeezezza nga ekimu ku kyaviirako abayizi ebigezo byabwe okusazibbwamu bwebunaffu bw’abakulembeze b’amasomero okulemererwa okubanyonyola obulungi ku bintu ebirina okwewalibwa nga bali mu kisenge eky’ebigezo.
Agamba nti kino kyatandikira ku briefing eyaliwo nga 17/10. Agamba nti waliwo ensobi ezakolebwa nga abayizi ng’olabira ddala nti abavunanyizibwa tebasobola kunyonyola baana bano.
Ono alabudde abakulira amasomero eky’okuteekateeka abayizi nga bagenda okutuula ebigezo okukitwala ng’ekikulu okwetangira ebiba biyinza okuddilira.
Wabula ategeezezza nga omuwendo gwe bigezo ebikwatibbwa olwa bayizi okwenyigira mu kukopa bwegukendedde.
Abaana ab’obulenzi bakoze bulungi okusinga abaana ab’obuwala nga bwegwali ne ku bigezo ebya PLE.
Ssaabawandiisi wa UNEB Daniel Odongo ategeezezza nti ku bayizi emitwalo 34 mu 695 abatuula ebigezo, abayizi emitwalo 17 mu 3,761 babadde balenzi ate emitwalo 17 mu 1,934 babadde baana babuwala.
Abayizi ab’obulenzi abakoze ebitundu 15 n’ekitundu bayitidde mu daal alisooka bwobagera n’abawala abakoze ebitundu 11 n’ekitundu.
Bwatuuse ku nkola y’olulimi, Odongo ategeezezza ng’abaana ab’obuwala bwebasinze abalenzi okukola olungereza ate abalenzi nebeelisa enkuuli mu somo lya Chemistry.
Ate eri abasibe 51 mu kkomera e Luzira abatuula ebigezo bino tewali yasobodde kuyitira mu ddaala erisooka.
Abasibe munaana bayitidde mu ddaala lya kubiri, 16 ku lyakusatu ate 26 mu lyakuna ate omusibe omu yagudde ne nkoona ne nywera kuttaka nga bwaba wakweyongerayo ne misomo gye arina okuddamu siniya eyokuna.
Wabula Odongo agambye nti omuwendo gwa basibe abagala okusoma gweyongedde.