Amawulire
Muyingo alabudde abayizi ku Bisiyaga mu masomero
Bya Prossy Kisakye,
Minisita omubeezi ow’eby’enjigiriza ebyawagulu, Dr John Chrysostom Muyingo alabudde abayizi okwewalira ddala okwetaba mu mukwano ogw’abantu abeekikula ekimu.
Muyingo agamba nti abali emabega w’okuleeta omuzze gwóbuli bwebisiyaga amaaso gaabwe gatunulidde nyo abaana bamasomero.
Ono okwogera bino abadde asisinkanye abayizi abasoba mu 150 abagenda okuweererwa, ensawo eyatuumibwa Bamunanika Education Fund nga ensisinkano ebadde Bamunanika mu disitulikiti y’e Luweero.
Abayizi bano beebamu ku bagenda okuyingira siniya esooka.
Okusinziira ku minisita Muyingo, obuli bwebisiyaga tegukontana bukontani nókuteesa kwa katonda wabula era gukontana nóbuwangwa bwa bafirika.
Mungeri y’emu, alabudde abazadde okusooka okukola okunonyereza ku masomero gye bagala okutwala abaana babwe agali omuzze guno baggewalire ddala.