Amawulire
Minisita Betty Amongi alagiddwa okulekulira ekifo kye
Bya Juliet Nalwooga,
Akakiiko ka palamenti akenjawulo akatekebwawo okunonyereza ku mivuyo eri mu kitongole ekitereka ekitavu kya bakozi ekya NSSF, akakulemberwa omubaka we kibuga kye mbarara, Mwine Mpaka, leero kanjiza byebazudde mu kunonyereza kwabwe eri palamenti.
Okusinzira ku alipoota akakiiko kagala minisita avunanyizibwa kunsonga za bakozi betti amongi, alekulire obwa minisita mbagirawo nga alangibwa okukozesa obubi ekifo kye nalagira abakulira NSSF okumuwa obuwumbi bwensimbi 6 okuva mu kitavu kya bakozi.
Mpaka agamba nti ono teyagoberera mitendera mituufu mu kugyayo ensimbi zino songa nomulimu gwe zakola tegutegerekeka bulungi.
Akakiiko era kasabye omuk weggwanga alondoole ensonga eno abakozi mu ggwanga abatereka ne NSSF basobole okuba abaggumu ku bukuumi bwensimbi zabwe.
Mungeri yemu akakiiko kasembye olukiiko olufuzi olwa NSSF lusatululwe abakulu banonyerezebweko okukakasa nti obuggaga bwebalina nabo tebatoola kunsimbi za bakozi.