Amawulire
Omuwendo gwábaana abawala abali embuto nábayonsa abatawanyizibwa endya embi gweyongedde
Bya Rita Kemigisa,
Alipoota empya eyafulumiziddwa ekitongole ekirwanirira eddembe lya baana munsi yonna ekya UNICEF eraga nti omuwendo gw’abawala n’abakyala abato abali embuto n’abayonsa abatawaanyizibwa endya embi gweyongedde okuva ku bukadde 5.5 okutuuka ku bukadde 6.9 okuva mu 2020 mu mawanga 12 agasinze okukosebwa ennyo olw’obuzibu bw’emmere n’endya mu nsi yonna.
Amawanga 12 okuli Afghanistan, Burkina Faso, Chad, Ethiopia, Kenya, Mali, Niger, Nigeria, Somalia, South Sudan, Sudan ne Yemen galaga obuzibu mu by’endya mu nsi yonna obweyongedde okusajjuka olw’olutalo mu Ukraine n’ekyeya ekigenda mu maaso mu mawanga agenjawulo, obukuubagano, n’obutali butebenkevu mu nsi ezimu.
Alipoota erabula nti ebizibu ebigenda mu maaso, ebyeyongera olw’obutafaanagana mu kikula ky’abantu, byongera okunyweza ekizibu ky’endya embi mu bawala n’abakyala abatiini ekiviriddeko enkulalukana entono mu mawanga gyebava.
Akulira ekitongole kya UNICEF, Catherine Russell agamba nti awatali kikolwa kya mangu okuva mu nsi yonna, ebiyinza okuvaamu biyinza okukosa emirembe egijja.
Okusinziira ku alipoota eno, abawala n’abakyala abatiini abasoba mu kawumbi kamu batawaanyizibwa endya embi (nga mw’otwalidde n’obuzito obutono n’okuba nti abaana babwe tebawanvuwa olwobutaba na biriisa bitonotono ebikulu.