Amawulire
Kaliisoliiso atandise okunonyereza kubegabanya obuyambi bwé Karamoja
Bya Rita Kemigisa,
Kaliisoliiso wa Gavumenti Betty Kamya ategeezezza nga offiisiye bweeli mu konoonyereza ku mugatte gw’abantu 156 n’ebitongole ebilabikidde mu mivuyo gy’amabaati agaali aga Karamoja okuva mu offisi ya Ssabaminista.
Betty Kamya agamba nti 21 ku bano 156 ba Minister, 28 babaka Parliament ne 13 ba Nampala ba gavumenti ez’ebitundu are ebitongole ebisoba mu 100 kuliko amasinzizo, amasomero, amalwaliro n’abantu sekinnoomu.
Ono abadde ayogerera ku mukutu gwa terefaayina ogumu enkya ya leero mu Kampala, ategeezezza nga obuganzi bw’omusango guno bwebweyogedde nga sibakutunuulira oyo yekka eyafuna amabaati gano mu bukyamu wabula baagadde n’okulaba engeri ki enkola eno ey’okutuusa obuyambi mu bitundu bya karamoja gyezze ekwatibwamu ebbanga ely’emyaka 2 okuva emabega.
Agamba nti kijja kubatwalira ebbanga erisoba mu myeezi 2 okukola okunoonyereza nga bakutwaliramu n’engeri ebintu bino gyebibadde bitambuzibwamu, gyebibadde biterekebwamu okusobola okuzuula amazima kwebanesigama basalewo ekisembayo.