Amawulire
Museveni ayagala kumanya ensonga esindikiriza abali b’ebisiyaga
Bya Nalwooga Juliet,
Omukulembeze weggwanga Museveni akkiriza wabeewo okukubaganya ebirowoozo okufuna ebyokudamu ku muzze gwe bisiyaga ogumamidde eggwanga okusobola okuzuula lwaki abantu basalawo okuwakanya okuteesa kwa katonda omusajja okwagala musajja munne songa abakazi webali.
Bwabadde ayogerako eri ababaka ba palamenti mu lutuula olw’enjawulo olubadde ku kisaawe e Kololo, akkolokose abazungu okwagala okusanyawo obuwangwa bwa baddugavu nga babasibako obwabwe obujjudde obwononefu.
Mungeri yemu Pulezidenti Museveni agamba nti wabaddewo enkulakulana eyessimba mu bitundu bya balunzi bénte wabula nategeeza nti era amaanyi gakyetaagisaayo.
Museveni anokodeyo ekya balunzi okwesigama ku muddo ogwebataalima, okubumbulukuka kwe ttaka nókulowoleza ku buyambi ngebimu ebikyasibidde ebitundu bya balunzi emabega.
Ono era alaze nti amata ga Uganda agóbuwunga galina akatale mu ggwanga lya Algeria akaweza dolla za America obukadde 150
Ono okwogera bino kidiridde ne ggwanga lya kenya okudamu okukkiriza amata ge Uganda okutundibwa munsi yabwe.