Amawulire
Eyasudde omwaana omuwere mu kabuyonjo Poliisi emukutte
Bya Mike Sebalu. Poliisi e Kasangati eriko omwana omuto gwenyuludde okuva mu kinnya kya kabuyonjo ono nga kigambibwa nti yasuuliddwamu omuwala omukozi w’omudduuka mu kitundu ekyo ategerekekse nga Winnie Namulemba.
Kiddiridde mukama we Blenda Bulyaba okwekubira enduulu ku Poliisi, ng’omukozi we abadde asulirirwa okuzaala ate bweyasangiddwa nga talulina ate nga n’omwana tamulina.
Ono oluvanyuma lw’okumukazakkaza, yasobodde okubatwala mu kabuyonjo gyebasanze ng’omwaana ono akaaba nabo abayanguye okutegeeza Poliisi.
Amyuka ayogerera Poliisi mu Kampala n’emiliraano Luke Oweyesigire agambye nti oluvanyuma lw’omwaana ono okujjibwayo, basoose mutwalako mu kalwaliro akali akumpi aka Hands of Love Medical Centre oluvanyuma gyebamujje okumwongerayo mu dwaliro ekkulu e Mulago.
Agamba nti Namulemba agenda kugurwako omusango gw’okugezaako okutta omwana.