Amawulire
Eddwaliro ly’e Kawempe liwereddwa ekyuma ekibera munda mu mubiri
Bya Babra Anyait. Eddwaliro eddene ely’e Kawempe lukubiddwa enkata yakyuma kikapyata ekikebera abakyala abali embuto n’embeera y’abaana ababeera bebabeera bettisse nga tebannazaalibwa.
Ekyuma kino kikozesebwa abakugu okumanya embeera y’olubuto nga lukula n’okumanya omwaana bwaali.
Ekyuma kyekimu kikozesebwa okumanya ebitundu by’omubiri eby’enjawulo nga bwebibeera biyimiridde omuli omutima, emisuwa, amaaso, obwongo, olubuto, emifumbi nekalonda omulala.
Bw’abadde akwasa abakulira eddwaliro lino ekyuma kino ku dwaliro lyennyini e Kawempe, akulira ekitongole ki Uganda Registration Service Bureau (URSB) Mercy Kainabwisho yategeezezza nga ekyuma kino bwekigenda okwongera ku bungi bw’abantu abatuusibwako obuwereeza mu kadde akatono.
Dr Emmanuel Baruhanga nga y’akulira edwaliro ly’e Kawempe agambye nti ekimu kubiviirako abalwadde abamu okufwa, bwebutabeerawo bw’ebyuma nga kino ebisobola okuyamba ku bakugu okutegeera awaba wava ekizibu.
Okuzinziira ku alipoota ya UNICEF eya 2020, omuwendo gw’abaana abafa nga tebannaweza myaka 5 mu Uganda gukyali waggulu nga ku buli baana emitwalo 10 abazaalibwa nga balamu, abaana 336 bebafa buli mwaka.