Amawulire
Ssaabasajja ayongedde okukubiriza abantube okwewala akawuka ka Mukeneya
Bya Prossy Kisakye,
Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II akubiriza abaddube na bazaanabe okwetanira okubeera obumu lwebajja okutuuka ku buwanguzi.
Kabaka okwogera bino asinzidde ku mbaga yókukuza amazaalibwage agomulundi ogwe 68 mu lubiri lwe e Mengo.
Atendereza bannaddiini na buli muntu okwokumusabiira nga okuba nobulamu obulungi era nakuutira olukiiko lwa baminisitabe okulaba nti ssemasonga wa Buganda atuukirizibwa.
Empologoma ya Buganda, Ssaabalangira azeemu okukunga obuganda okuba obusaale mu kulwanyisa ekirwadde kya mukenenya.
Nnamunswa ategezeza nti ekirwadde kya Mukenenya kisobolera ddala bulungi okulinyibwa kunfeete singa buli muntu afaayo okukyewala nga bayita mu kwekuuma ate abaakifuna edda ne bamira bulungi eddagala lyabwe nóbutakola ttima kusiiga balala mu bugenderevu songa nabatanyi webayimiridde abalagidde okugenda okukeberebwa
Kabaka mungeri yemu asiimye bonna abakoze okulaba nti bamutegekera amazaalibwa agekitiibwa
Bwabadde akulembeddemu okusabira Ssaabasajja omusumba w aba Advent mu Uganda Pastor Dr Moses Maka Ndimukika asiimye Katonda olwokuwa Omuteregga obukuumi wakati mu kusomoozebwa.
Omukolo guno gwetabiddwako abeebitiibwa omubadde bannaddiini, abenju yólulyo olulangira, baminisita ba Buganda, bannabyabufuzi nábalala bangi.