Amawulire
Minisita Kitutu Kooti emuyimbudde
Bya Ruth Anderah. Court erwanyisa obukenuzi e Kololo ekkirizza okweyimilirwa ka Minista avunanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja Gorreti Kitutu ne mwanyina Micheal Naboya.
Minista alagiddwa okusasula obukadde bwa shs 10 ez’obuliwo ate mwanyina okusasula obukadde 3 ez’obuliwo.
Abeyimiridde Minisita batadde emikono kakalu ka bukadde 200 ezitali za buliwo buli omu ate mwanyina abamweyimiridde batadde emikono ku kakalu ka bukadde 100 ezitali za buliwo.
Abeyimiridde Minister kuliko Minister ow’ensonga z’abakadde Gidudu Mafabi Dominic, Omubaka Wakholi Godfrey owa Bukiru County mu district y’e Manafwa, Omubaka Christopher Werikhe owa Bubulo County West mu district yemu ey’e Manafwa okwo nga bataddeko n’omwami omusuubuzi mu kibuga Mbale Gregory Mafabi .
Ebyapa bya Minisita 2 byeyasooka okutwalira Court ng’omusingo nabyo Court ebisigazza.
Bano omulamuzi alagidde bakomewo eri Kooti eno nga 27th/April/2023 ku ssaawa 3 ez’okumakya.
Mu buufu bwebumu, Omulamuzi wa Court enoJoan Aciro, agobye okwemulugunya okwagiloperwa Minister Gorretti Kitutu nga awakanya eky’omwogezi wa Offiisi y’Omuwaabi wa Gavumenti okudda nga mu bannamawulire natandika okwogera ku musango gwe bwegubadde nga gugenda mu maaso mu mbuga ez’amateeka.
Ng’ayita mu bannamateeka be, Minisita yategeeza nga ekibadde kikolebwa Jacquelyn Okui bwekibadde kimenya amateeka ga Kooti.
Kidiiridde Omuwaabi omukulu mu musango guno Jonathan Muwaganya okusaba omulamuzi okugoba okwemulugunya kuno nga agamba nti tekubadde na bujulizi bumala.