Amawulire
Abakulembeze b’abavubuka bavuddemu omwaansi ku kulonda e Makerere
Bya Mike Sebalu. Abakulembeze b’abavubuka mu bibiina by’eby’obufuzi eby’enjawulo bawadde abakulira Ssetendekero e Makerere amagezi okuyimiriza okulonda okugenda mu maaso mu kiseera kino e Makerere.
Bano okuli ba’ekibiina ki ANT,CP, FDC, DP, JEEMA, NRM, PPP. UFA,NRM, UPC, bangamba nti ekyo bwekigaana, bakwegatta ku musango ogwatwaliddwayo banna kibiina kya NUP Margret Nattabi ne Sulaiman Namwoza, abagobeddwa mu lwokwaano olw’ebikorwa abategeze okulonda byebagamba nti byaali bimenya amateeka g’okulonda.
Bano wansi w’omukago gwabwe gu Interparty Youth Platform, era bawadde abakulira Makerere University amagezi okuddamu okwetegereza amateeka agafuga okulonda kw’abakulembeze e Makerere agakyusibwa gyebuvuddeko geboogeddeko ng’agalinyilira eddembe ly’okulonda.
Bano baagala n’eky’abayizi abawandukuluddwa mu lwokaano okugaanibwa okulinnya ekigere ku Ssetendekero nakyo kikyusibwe basobole okuddamu okugenda mu maaso n’emisomo gyabwe.
Mu ngeri yemu baagala n’enkola egobererwa okulonda e Makerere nga bakozesa emitimbagano ekyusibwe wamu n’engeri akalulu gyekanonyezebwamu bakkirizze abesimbyewo okuddamu okuwenja akalulu nga tewali kibakuba ku mukono nga bwegwali emabega.
Bano bakulembeddwamu Sentebe w’omukago gwabwe Abdul Wahab Kasozi nga basinzidde mu Kampala okwogerako ne Bannamawulire.
Abantu 09 bebakakasiddwa okuvuganya mu kulonda kuno okugenda mu maaso ku kasozi k’abayivu okuli Sabiiti Akankunda, Julius Birigwa, Robert Maseruka, Baraka Nkoyooyo ne Oremo Odwee. Abalala ye Mark Ssebunya, Andrew Lubinga, Evans Murungi, ne Emmanuel Wanyama.
Abaali besowoddeyo awamu baali 11 nga Margret Nattabi ne Sulaiman Namwoza tebannaba kuwandukulurwa mu lwokaano.
Okulonda kuno kusuubirwa okukomekerezebwa ku saawa 11 ez’olweggulo.