Amawulire

Kabaka aweereza Abasiraamu obubaka bwa Eid- Musabire Uganda

Kabaka aweereza Abasiraamu obubaka bwa Eid- Musabire Uganda

Ivan Ssenabulya

April 20th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Kabaka wa Buganda, Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi 11 asabye Abasiraamu okwetoloola eggwanga okukozesa ebikujjuko bya Eid-al-fitr eby’omwaka guno okusabira Uganda ebeere ensi eyegombesa buli muntu.

Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa akawungeezi ka leero nga kiriko omukono gwa Ssaabasajja, asabye Abasiraamu okusaba Allah abakulembeze beggwanga lino okutuusa empereeza ennungi eri bannansi.

Agambye nti obulamu bw’embeera z’abantu n’ebyenfuna bya Bannayuganda bwetaaga okutumbulwa nga bayita mu kuwa eby’obulamu ebirungi, ebyenjigiriza, n’okulaba nti abantu basulako mu mayumba amalungi.

Ono agambye nti Uganda ekyabonaboona ne kizibu kye byobulamu olwa malwaliro awatali bikozesebwa, neddagala era nga bino okusinga bikosa bannakazadde beggwanga ababa bagenze okuzaala nabali embuto.

Omutanda era agamba nti bannauganda bangi bakyasula mu buyumba yumba obutali bwa mulembe naddala abali mu nzigotta ne mu byalo.

Yennyamidde okulaba nga wakyaliwo amasomero mu Uganda agatalina kaabuyonjo ne bibiina abayizi mwe basomera, by’agamba nti bino byonna bikosa omutindo gw’enkola y’ebyenjigiriza mu ggwanga.

Nnamunswa ayagaliza Abasiraamu Iddi ennungi.

Abasiraamu basuubirwa okukomekereza ekisiibo kyabwe olwaleero, ekifundikira omwezi omutukuvu ogwa Ramathan singa omwezi gulabibwa akawungeezi ka leero, okukuza olunaku lwa Eid kwa nkya ate bwegutabooneke Eid ejjakuba ya  Lwomukaaga.