Amawulire

Absilaamu wonna basadde IDD

Absilaamu wonna basadde IDD

Ivan Ssenabulya

April 21st, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu. Kubadde kusinza eri eddiini y’abasilaamu mu nsi yonna oluvanyuma lw’okumalako ekisiibo nga bajaguza okutuuka ku Idd leero.

Abasilaamu bakedde kweyiwa ku mizikiti nga ne wano mu Uganda gyebukeeredde nga buli mu silaamu alowooza ku kyakugenda ku muzikiti okusaala Idd.

Okuvaako e Kampala mukadde ku kitebe ky’obusilaamu ekya Uganda Moslem Supreme Council (UMSC), Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Ramathan Mubajje azzeemu okujjukiza President okwanguyaako okuteeka omukono ku teeka ku bisIyaga kiyambeko okutaasa ebiseera by’eggwanga ely’omumaaso.

Agambye nti etteeka lino singa litekebwawo lyakiuyambako okutaakiriza abo abanatera okugajamburwa ekintu ekiyinza okubeera eky’obulabe.

Mufti Mubajje era avumiridde okulwanagana okugenda mu maaso mu gwanga ely’omuliraano e Sudan. Agambye nti ekisinga okubaluma n’okubenyamizza, bebalwanagana okubeera nga bonna basilaamu ekileseewo okubonaabona. Muno agasseeko amawanga amalala awali okubonaabona nga Palestine, Ukraine, Russia era nakubiriza enjuuyi zonna eziri mu kulwana kino zikomye.

Ayogedde neku program za gavumenti zagambye nti bangi ku basilaamu tebannaziganyurwamu bwatyo n’asaba gavumenti ekilowozeeko.

Ate okuvaako ku muzikiti e Kibuli, Supreme Mufti Shiekh Muhammad Galabuzi Supreme asoose kusiima Parliament olw’okuyisa etteeka ku bisiyaga wabula n’asaba abakulembeze nga nebanna diini mwobatwalidde okubunyisa enjiri ku bubi obuli mu bikorwa ebifaananako ng’ebyo.

Supreme Mufti akyukidde amasomero n’agasaba nga bwegakebera abaana b’obuwala nga baddayo ku msaomero, n’abaana ab’obulenzi bwebaba babakebera okwongera okunyikiza olutalo ku bisiyaga era yonna anaaba azuuliddwa nga yenyigira mu bikorwa ng’ebyo, akwatibwe nga ku nkoona.

Asabye abasilaamu okusabira ensi yonna ebukalemu emirembe n’okusingira ddala ku muliraano mu gwanga lya Sudan awali okulwanagana okulese nga abantu bangi balusuddemu akaba ate ng’abalala bapookya n’ebisago.

Awadde ekitebe kya Uganda e Sudan amagezi okukola kyonna ekisoboka okulaba nga banna Uganda abli e Sudan babajja mu buzibu obwo bakomezebwewo awaka.

Yye District khadhi wa Greater Masaka, Sheikh Sulaiti Ssentongo asabye abasiraamu okwegattira mu bibiina olwo Gavumenti efune engeri gyeyinza okubayamba.

Ono naye bubadde bubaka bwe obwa Eid ku Muzigiti omukulu e Masaka n’agamba nti abantu abatalina webegattidde kizibuwala engeri gyebayinza okuyambibwa.

Shk Sentongo akuutidde abasiraamu okusigala nga beyisa nga bwebabadde n’okujaguza Eid nga bagoberera amateeka ge ddiini.

Imam w’omuzigiti gwa Masaka main Mosque Sheikh Abbas Nseera atenderezza Gavumenti okuvaayo n’ekwata ku babbi b’amabaati omulundi ogusookedde dala obubbi okubuyita obubbi nga  kati amaaso gatunuulidde kooti eramule.