Amawulire

Uganda erinze lukusa lubuusa nnyonyi ekomyawo banna Uganda okuva e Sudan

Uganda erinze lukusa lubuusa nnyonyi ekomyawo banna Uganda okuva e Sudan

Ivan Ssenabulya

April 24th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu. Uganda eri mu ntegeka zakukozesa nnyonyi okujja banna Uganda e Port Sudan okubakomyawo kuno mu kawefube gweriko ow’okubawonya ekibambulira ky’olutalo olugenda mu maaso mu gwanga Sudan n’okusingira ddala mu kibuga ekikulu Khartoum.

Wabula okuva e Khartoum, bano abasoba mu 300 bakutambuzibwa na baasi okubajja mu dwaniro okutuuka ku nsalo ya Sudan n’eggwanga lya Ethiopia.

Omubaka wa Uganda e Sudan Yahya Ssemuddu  agamba nti kyebakyalinze kati lwelukusa lw’okubuusa ennyonyi enabajja e Port Sudan okubakomyawo mu Uganda.

Bino webijidde, ng’amawanga mangi agaakula edda ku nkomlero ya sabiiti ewedde gabadde ku ddimu elinonayo abantu baago ababadde bawagamidde mu kibuga Khartoum nga tebalina wakuyita okudda ku butaka.

Eggwanga elyasoose okukola kino lyabadde lya Amerika, elyasindise ba komando balyo 60 okununula bannansi abasoba mu 100 nga n’akulira ekitebe ky’ Amerika n’abenju ye mumutwalidde.

Webukeeredde leero ku Mande, ng’amayengo ga Internnt e Sudan lufuuse lufumo nga kizibu okugenda ku mutimbagano nobaako kyosindika.

Ekiwandiiko ekifulumiziddwa  kitegeezezza nga amayengo ga internet bwegali ku bitundu 2 ku 100 byokka nga kigambibwa nti wabaddewo okukwata mu byuma bya internet nga kikolebwa akabinja k’abalwanyi aka Rapid Support Forces.

Wabula agava mu kibuga Khartoum galaga nti amayego gawo aga Internet, gabadde teganatataagana.