Amawulire

Omumyuka wa Sipiika avudde mu mbeera ku ky’okutulugunyizibwa kw’ababaka abakyaala

Omumyuka wa Sipiika avudde mu mbeera ku ky’okutulugunyizibwa kw’ababaka abakyaala

Ivan Ssenabulya

April 28th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu. Omumyuka w’omukubiriza w’olukiiko olukulu olw’eggwanga Thomas Tayebwa, awadde Ssabaminisita olunaku lw’okubiri olwa Sabitii ejja okuleeta ekiwandiiko eri Parliament ekinyonnyola awaava ekilagiro ekikugira ababaka ba Parliament abakyaala okuva ku ludda oluwabula gavumenti okutegeka n’okukuba nga enkungaana mu bantu mu bitundu byebakiikilira.

Kyaddiridde okwekalakaasa n’okukwatibwa kw’ababaka bano ku Parliemnt olunaku lwa ggyo bano bwebaabadde bategeka okutambula okwolekera ekitebe kya Minisitule y’ensonga zomunda mu gwanga ne ku kitebe kya Poliisi batwaleyo ekiwandiiko kyabwe ekilaga obutali bumativu n’ebikorwa ebibatusibwako.

Bano bavumilira n’elyanyi elisukkiridde elibakolebwako nga n’abamu batuuse n’okuwebwa ebitanda ate abalala baakubwamu n’omukka ogubalagala.

Ababaka ba Parliament 11 bebakwatiddwa olunaku lw’eggulo nebaggalibwa ku CPS mu Kampala era nga bano omukubiriza w’olukiiko olukulu olw’eggwanga Anita Among yeyagenzeyo okubeyimilira.

Ebikorwa ebyatuseewo ku Parliament olunaku lwa ggyo byawalirizza Tayebwa n’okuyimiriza olutula lwa Parliament okutuusa ng’ensonga z’ababaka bano zimaze okugonjoorwa.