Amawulire

Amawanga ga East Africa gataddeyo okusaba eri CAF okutegeka ekikopo kya Africa mu 2027

Amawanga ga East Africa gataddeyo okusaba eri CAF okutegeka ekikopo kya Africa mu 2027

Ivan Ssenabulya

April 28th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu. Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’omupiira mu Africa kikakasizza nga bwekifunye okusaba okuva eri amawanga elya Uganda, Tanzania ne Kenya okutegeka empaka z’ekikopo kya Africa – Africa cup ez’omwaka 2027.

Kyokka bano baakuvuganya n’amawanga amalala agataddeyo okusaba kwago okutegeka empaka zezimu okuli; Botswana, Egypt ne Algeria.

Kati amawanga gonna agasabye galina okuwaayo ebiwandiiko ebikakasa okusaba kwago nga biva eri gavumenti zaabwe.

Mu bino mulina okubeeramu n’ebibuga mwebagenda okutegekera empaka zino n’oluvannyuma wakati wa nga 1 June ne 15 July omwaka guno ekibinja ky’abakugu okuva mu CAF kyakulambula ebisaawe n’ebibuga ensi zino ezinaaba ziwaddeyo.

Wabula bino bijidde mu kiseera nga Uganda terina kisaawe kikkirizibwa kuzannyirwamu mupiira guli ku ddaala lya Africa na nsi yonna mu kiseera kino, oluvanyuma lwa Namboole okubeera ng’ali mu kudaabirizibwa